TOP

Enjala empanvu katono zimulemese okusamba omupiira

Added 5th March 2019

Enjala empanvu katono zimulemese okusamba omupiira

 Omuzannyi nga yerongoosa

Omuzannyi nga yerongoosa

Bukasa 0-0 Salaama

Wabigalo 4-0 Katwe II

Lukuli 0-0 Kisugu

Nsambya Central 3-1 Katwe I

ENJALA katono zeremye abasambi ba Katwe I omupiira webatuuse okukebera ebisanyizo by'abazannyi nga layisinsi, wabula nga bano balina enjala mpanvu.

Bano baabadde ku kisaawe kya  Nsambya e Gogonya miti mu mpaka z'emiruka egikola egombolola y'e Makindye eziyitibwa Makindye Mutuba III Sports Tournement.

Webaatuuse okukebera abazannyi, kyazuliddwa ng'aba Katwe I okuli Yusuf Mubiru ne  Zakiyu Ssembatya webabadde n'enjala nga mpanvu eziyinza okubeera ez'obulabe eri basambi banaabwe ekyawaliriza eyabadde agenda okugulamula okubagamba bade ebali basooke bazisaleko.

Bano munaabwe yabawadde akasala enjala nebatandika okuzikweculako era oluvannyuma nebakirizibwa okuyingira mu kisaawe, naye nga kino tekirina kyekyabayambye kuba omupiira gwawedde bakubiddwa ggoolo 3-1 ezatebeddwa Daniel Elimu, Timothy Oyami ne Isaac Ofoyirwoth, ate 

Alex Wasswa n'akuba eya Katwe.

Mirala, Kibuye I yawereddwa ggoolo satu n'obubonero oluvannyuma lwa Nsambya Estates obutalabikako wamu ne  Kibuli olwa Buziga obutajja , ate Kibuye II NE Nsambya  Railways tegwazannyiddwa olwa ttiimu zino okugobwa mu mpaka kuba zalemererwa okutukiriza ebisanyizo ebyabasabibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...