TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Aba Buganda bagenda kwesasulira baddiifiri

Aba Buganda bagenda kwesasulira baddiifiri

Added 5th March 2019

Kiraabu za ligyoni ya Buganda zisazeewo okwesasulira baddiifiri olwa ssente za FUFA obutamala

 Andrew Kaweesa (ku kkono), Issa Masembe, ow'abaddiifiri ne David Mutono, omumyuka w'akulira liigi ya Buganda

Andrew Kaweesa (ku kkono), Issa Masembe, ow'abaddiifiri ne David Mutono, omumyuka w'akulira liigi ya Buganda

Bya DRAKE SSENTONGO

KIRAABU za ligyoni ya Buganda ezaali zeesunze obutasasula  baddiifiri olw'ekisuubizo kya pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo, zaasazeewo zibasulireko ekitundu.

Magogo bwe yali asuubiza mu ttabamiruka wa FUFA eyali e Kabaale, yategeeza abakiise nti okutandika ne sizoni ya 2018/19 ekya ssente za baddiifiri ba ligyoni bakirekere FUFA, kyokka ate kati baakabatemye nga buli ligyoni omunaana mu ggwanga bwe yaweereddwa obukadde 20 eza baddiiri. 

Buganda yeetaaga obukadde 57 okusasula baddiifiri buli sizoni.  Buli mupiira, baddiifiri abasatu ne kalabaalaba 'Assessor' bafuna 45,000/- buli omu, (gy'emitwalo 18).  Liigi ya Buganda yeesingamu kiraabu ennyingi (26) era baasaba ligyoni yaabwe eweebwe enkizo, era bakyalinda kiva mu FUFA.

"Naffe tulina bakama baffe (FUFA) abatutwala era liigi tesobola kuyimirira, kwe kusaba buli kiraabu ereeteyo 80,000/- ku mupiira ogw'awaka," ssentebe, Andrew Kaweesa bwe yategeezezza mu lukiio olwatudde e Mmengo ku Mmande.  Sizoni ewedde, kiraabu ekyaza ye yasasulanga emitwalo 18 gyonna.   

Bwogatta ezigenda okuva mu FUFA n'ezaasaliddwaawo kiraabu, buli ddiifiri waakufuna 35,000/- mu kifo kye 45,000/.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...