TOP

Ow'ebikonde abivuddemu lwa ddogo

Added 5th March 2019

Badru Lusambya, oweebikonde agambye nti abivuddemu lwa ddogo

 Meddie Sebyaala (ku kkono) ng'awumiza Badru Lusambya

Meddie Sebyaala (ku kkono) ng'awumiza Badru Lusambya

 

Bya FRED KISEKKA

OMUGGUNZI w'eng'uumi, Badru Lusambya alangiridde nga bw'atagenda kuddamu kuzannyira  bikonde mu Uganda lwa ddogo.

Lusambya yategezezza Bukedde nti amaze ebbanga ng'awulira abantu bamuyeeya olw'okukubwa Meddie Kabona Ssebyaala eng'uumi ezamulekako kikuba mukono nti kyokka kye bataamanyi nti yawangulwa lwa ddogo.

Lusambya alumiriza nti eddogo lino balimuteera mu lingi era nti lyamuwunza awamu n'okumutula emikono n'amagulu.

 usambya ngali ku ttaka Lusambya ng'ali ku ttaka

 

Lusambya ne Ssebyaala battunkira omusipi gw'eggwanga mu buzito bwa ‘Welter', nga December 26 omwaka ogwedde, ku kizimbe kya La'Ponye mu Kampala. Lusambya , teyakubayo Ssebyaala wadde ekikonde  ekiyuza olulagala era ku laawundi 10 ze baalina okuttunkira yamalako.

SSEBYAALA AYANUKUDDE.

Ebya Lusambya okugamba nti yawangulwa lwa ddogo, Ssebyaala ebiyise bya kyewusa n'agamba nti zandiba ng'eng'uumi ze yakumukuba ze zikyamuli ku mutwe.

" Ssinga kituufu nti  eddogo lye liwangula ennwana, Samuel Lukanga, nannyini Lukanga Boxing Club, era okola ogw'okusawulo, yandibadde na buli musipi mu ggwanga," Ssebyaala bwe yagambye.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo