
Abasituzi b'obuzito basatu basitudde olwaleero okugenda mu ggwanga lya Amerika okwetaba mu mpaka za World Youth Weightlifting Championships mu kibiga Las Vegas mu ssaza lya Nevada.
Babiri okuli Handan Lutaaya Serwanga ne Lawrence Nkutu bagenze kwetaba mu za mutendera gw'abali wansi w'emyaka 20, so nga Sempereza agenda kuvuganyiza mu mutendera gwa Las Vegas Bronze Opening nga zonna zizannyibwa March 5-15.
Pulezidenti wa Uganda Weightlifting Championships, Salim Musoke y'akwasizza abazannyi bano bbendera nga bagenze okunoonya obunonero obunaabatwala mu mizannyo gya Olympics Japan 2020.
Babadde ku kitebe kya mizannyo ekya NCS e Lugogo.