TOP
  • Home
  • Rally
  • FMU ereese abuntu 250 kutangira bubenje

FMU ereese abuntu 250 kutangira bubenje

Added 7th March 2019

Mu mpaka za mirundi ebiri ezisembye mu baddemu obubenje. FMU omulundi guno esiira eritadde mu kulwanyisa bubenje.

 Arthur Blick ng'avuga Evo 10 ye.

Arthur Blick ng'avuga Evo 10 ye.

ABAKUNGU ba Central Motor Club (CMC) n'ab'ekibiina ekifuga omuzannyo gwa mmotoka z'empaka mu ggwanga (FMU) baataddewo ekibinja ky'abantu 250 okulaba nga batangira obubenje mu mpaka za CMC Challenge Rally ezigenda okubeera e Mukono wiikendi eno nga March 9-10.
Ssaabawandiisi wa FMU, Ernest Zziwa yagambye nti mu mpaka zino bagenda kusinga kukulembeza kya kwewala bubenje kuba omuzannyo gwetaaga abawagizi nga balamu era y'ensonga lwaki bayungudde abakuumi bangi.
"Twagala kulaba nga tutaasa obulamu bw'abawagizi nga tukendeeza ku bubenje obubeera mu muzannyo. Mu mpaka z'e Mbarara emmotoka yatta omuntu kye tutayagala kiddemu kulabika mu muzannyo. Omuzannyo gukula bawagizi, obubenje bubeera bubagoba," Zziwa bwe yagambe.
Empaka zino za kutandika ku Lwomukaaga n'ez'omu kisaawe ku Festino City e Mukono enkeera zoolekere ebitundu okuli; Nammere (Kiyunga Bugerere), Geggedde mu majaani, Nakapinyi - Mbalala (Mukono), Nandagi (Namawojjolo) zimalire e Nama wabula ng'ebitundu bino byonna zaakubiyitamu emirundi esatu. Engule y'omwaka guno ekulembeddwa Jas Mangat n'obubonero 100.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu