TOP

Ramos atabuse ne pulezidenti wa Real Madrid

Added 8th March 2019

Real yawangula ebikopo bya Champions League bisatu eby'omuddiring'anwa kyokka ku luno yakomye ku luzannya lwa ttiimu 16.

 Sergio Ramos kapiteeni wa Real Madrid.

Sergio Ramos kapiteeni wa Real Madrid.

PULEZIDENTI wa Real Madrid, Florentino Perez atiisizza okugoba kapiteeni wa ttiimu eyo oluvannyuma lw'okuwaanyiganya ebisongovu wakati wa bano bombi.

Kiddiridde omutindo omubi Real gw'eyolesa ennaku zino nga ne ku Lwokubiri, yawanduddwa Ajax eya Budaaki mu Champions League ku mugatte gwa ggoolo 5-3.

Oluvannyuma lwa Ajax okubakuba ggoolo 4-1 omwabwe ku Santiago Bernabeu mu Champions League, Perez yalumbye abazannyi mu kasenge n'abanenya obuteewaayo n'okuzannya ng'abatayagala.

Yagambye nti baswaza nnyo kuba tebayinza kujoogebwa ttiimu nnafu bw'etyo nga balinga abatazannyanga ku mupiira.

 erez pulezidenti wa eal adrid Perez, pulezidenti wa Real Madrid.

 

Mu kwanukula, Ramos yayanukudde Perez nti ye kazaala bulwa kuba yalemwa okugulayo omuteebi adda mu bigere bya Cristiano Ronaldo eyeegatta ku Juventus eya Yitale.

Wabula Perez teyamulinze kumalayo bigambo bwe yamugambye nti, "Ggwe nja kukugoba. Tosuubira nti oli munene ku ttiimu."

Wabula ne Ramos teyasirise naye n'azza omuliro nti, "Nsasula, nja kukuviira."

Ramos, 32, teyazannye mupiira gwa Ajax olw'ekkoligo lya kaadi emmyuufu gye yafuna mu mupiira ogwasooka e Budaaki.

Real yawanduddwa Barcelona mu Copa del Rey ku mugatte gwa ggoolo 3-1 sso nga tekyalina mikisa giwangula liigi ya Spain kuba Barcelona ekulembedde, ebasinga 12 ng'ebula emipiira 12.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...