TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Sipiika wa palamenti asiimye aba cricket

Sipiika wa palamenti asiimye aba cricket

Added 11th March 2019

Sipiika wa palamenti, Rebecca Kadaga, ategeezezza nga bw'agenda okwongera okutunda omuzannyo gwa cricket mu babaka gusobole okweyongera okukula

Kadaga (wakati mu ssuuti ) ng'ali n'abamu ku bawanguzi  ku  wooteeri ya Kati Kati e Lugogo

Kadaga (wakati mu ssuuti ) ng'ali n'abamu ku bawanguzi ku wooteeri ya Kati Kati e Lugogo

 

SIPIIKA wa Palamenti, Rebecca Kadaga asiimye bonna abeenyigira mu muzannyo gwa cricket nti bayambye okutumbula eggwanga nga beetaba mu mpaka ez'enjawulo.

Kadaga era yasiimyemu akensusso abakyala n'abavubuka abeenyigidde mu muzannyo guno n'agamba nti agenda kwongera okusikiriza ababaka ba palamenti batandike okuzannya cricket bongere okugumanya n'okugutumbula.

Sipiika yabadde ku kijjulo ekibiina kya kya Uganda Cricket Association (UCA)  kwe kyatikkiriridde abaasinze okukola obulungi mu muzannyi guno omwaka oguwedde, ku wooteeri ya Kati Kati.

Ssentebe wa UCA,  Bashir Badu agambye nti baagala kulaba ng'omuzannyo guno gukula okwongera ku bazannyi 55,000 abaguzannya kati, era essira balitadde mu masomero,n'asiima ne kkampuni ezibayambye okubassaamu ensimbi.

 

Abaasinze

1.Abazannyi b'omwaka - Immaculate Nakisuyi (Mukazi) ne Riatz Alisha (Musajja).

2.Abasinze obuto -  Ester Iluka (Muwala) ne Juma Miyagi (Mulenzi).

3.Maneja w'omwaka   Jackson Kavuma.

4.Omutendesi w'omwaka   Yusuf Nanga.

5.Ddiifiri w'omwaka   Norbert Abbi.

6.Munnamawulire w'omwaka   Ramzan Kakooza

7.Eyasinze okutegeka ebisaawe   Peter Mutebi.

Kiraabu ezaasinze:

Ekibinja ekisooka:

Abakazi -  Aziz Damani Development Team

Abasajja  -  Aziz Damani Club

Ekibinja ekyokubiri:

Abakazi - Soroti Challengers

Abasajja -  Tonado Cricket Club

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...