TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Aba Taibah battunse mu mizannyo egy'enjawulo

Aba Taibah battunse mu mizannyo egy'enjawulo

Added 11th March 2019

Abazadde bakubiriziddwa okuyamba abaana baabwe okwettanira ebyemizannyo

 Abayizi nga bategeka okuttunka mu bugaali

Abayizi nga bategeka okuttunka mu bugaali

ABAYIZI b'ennyumba ya Bbulu Mufumbira ku Taibah Junior School baalemeddwa emizannyo emirala ne beesiba ku bugaali, bwe bawanguddemu ebikopo bina (4) okusitukira mu bwa nnantameggwa mu mizannyo gy'essomero lino.

Bawangudde mu bakulu n'abato mu mmita 100 ne 400 okulinnyisa obubonero okuwangula.

Bbulu Mufumbira, eyakwata ekyokusatu omwaka oguwedde, yawangulidde ku bunonero 685 n'eddirirwa Green Moroto,  eyawangudde mu badminton, okuwuga n'emisinde n'efuna obunonero 646.

Yellow Elgon yasinze ku kubaka n'ekwata kyakusatu ku bunonero 569,  olwo Red Rwenzori esinzizza empisa n'emalira ku bubonero 548.

 ahad utebi omu ku bazadde ba aibah unior chool e awempe ngakwasa abayizi bennyumba ya bulu mufumbira Mahad Mutebi omu ku bazadde ba Taibah Junior School e Kawempe ng'akwasa abayizi b'ennyumba ya Bbulu mufumbira

 

Akulira essomero lya Taibah, Madina Mugenyi asoomoozezza abazadde okujjumbira okuyamba abaana baabwe mu bintu ebikolebwa ebweru w'ebibiina basobole okuzimbibwa nga bajjudde mu buli kintu.

Agambye nti abaana okwenyigira mu mizannyo kibayamba okusoma obulungi kubanga giwagala obwongo sso nga n'abamu ku ssomero basinga kunyumirwa mizannyo gye balinamu ttalanta.

Abayizi 576 be beetabye mu mizannyo gino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...