TOP

Aba Nkumba bali mu kattu lwa nsimbi

Added 11th March 2019

Ttiimu ya Nkumba eya volleyball eyigga nsimbi ez'okugitwala e Misiri okwetaba mu mpaka za Afrika

 Maria Bugonzi ne Lillian Adeke (ku kkono) nga bazibira Habibah Namala owa Nkumba

Maria Bugonzi ne Lillian Adeke (ku kkono) nga bazibira Habibah Namala owa Nkumba

Bya GERALD KIKULWE

YUNIVASITE ya Nkumba batuula bufoofofo okulaba nga bafuna obukadde 40 okusobola okwetaba mu mpaka za Afrika ez'abaka (Women's African Club Volleyball Championship 2019).

Sizoni ewedde Nkumba yasitukira mu bikopo bibiri,  ekya ttiimu empanguzi  mu ggwanga (National Club Volleyball Championship) n'ekya liigi (Aziz Damani National liigi), ekyagiyisaawo okukiikirira Uganda mu za Afrika, ate Nemostars ne UCU bakiikirire abaami.

Empaka zino zitandika ku Lwamukaaga nga March 16 mu kibuga Cairo ekya Misiri, wabula Nkumba ebuliddwa ensimbi ezibeetaagisa okutambuza abazannyi n'okubalabirira okumala enaku 10 ze balina okumalayo. Empaka zikomekekrezebwa nga March 25.

Nkumba erina kusitula ku Lwokuna nga March 14, wabula singa eremererwa, kitegeeza Uganda tegenda kufuna ttiimu y'abakazi  kuba Ndejje, ttimu endala eyalina okukiika, nabo okubivaamu olw'ensonga y'ensimbi.

Tonny Lakony, atendeka Nkumba agamba nti babadde n'embalirira ya bukadde 75, wabula baakafunako obukadde 35, nga singa tebafuna zisigaddeyo,  zibula baakuwalirizibwa okutwalako abazannyi mukaaga bokka  ekintu eky'obulabe ennyo kuba omu bw'alwala tewaba mulala.

Ku Lwokutaano, Nkumba yategese enzannya ez'omukwano wakati wa UCU Doves ne Kampala Amatuer Volleyball Club (KAVC) ku MTN Arena e Lugogo, n'ekigendererwa eky'okusonderako ssente. Nkumba yawangudde KAVC ku nzannya 3-0 ate n'ekubwa UCU Doves ku nzannya 2-1.

Guno gwe mulundi ogwokuna nga Nkumba yeetaba mu mpaka zino. Sizoni ewedde baamalira mu kyamwenda  ku ttiimu 21.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...