TOP

Cranes etandise okutendekwa

Added 11th March 2019

Cranes etandise okutendekwa

ABASAMBI 24 be beetabye mu kutendekebwa kwa Cranes e Lugogo ku kisaawe kya Star Times nga beetegekera Tanzania mu luzannya lwa AFCON nga March 24 e Dar es Salaam.

Asiimye omutindo gw'abasambi abapya abeegasse ku ttiimu eno okuli Bashir Matanda, Juma Balinya, Joel Mudondo, Ivan Eyamu ne Solomon Walusimbi.

Desabre agambye nti alina ennaku nnya zokka okubangula ttiimu egenda okusookera mu gw'omukwano e Misiri olwo gende e Tanzania era nti asuubira ng'abasambi bajja kubeera nga bamulaze kye balinawo okulonda ttiimu.

"Ennaku ntono ddala wabula tetunuulidde gwa Tanzania gwokka. Tutunuulidde ne ttiimu egenda okusamba ogwa CHAN ne South Sudan mu July", Desabre bw'ategeezezza.

Ye Juma Balinya owa Police FC ategeezezza bannamawulire nti omutindo ogumutuusizza okusamba mu Cranes agukoleredde era nti waakufuma okulaba nti asigala ku ttiimu.

Ababadde mu kutendekebwa kuliko Charles Lukwago, James Alitho, Nicholas Sebwato, Saidi Keni, Godfrey Walusimbi, Timothy Awanyi,Hassan Wasswa, Allan Kyambadde, Allan Okello, Patrick Kaddu, Mustafa Kizza, Brian Majwega, Julius Poloto, Sadam Juma, David Owori, Joel Mudondo, Bashir Mutanda, Juma Balinya, Patrick Mbowa, Paul Willa, Ivan Eyamu ne Samson Walusimbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...