TOP

Nkumba egenze mu za Afrika nga tewera

Added 14th March 2019

Ttiimu ya Nkumba eya volleyball agenze okwetaba mu mpaka za Afrika nga tewera oluvannyuma lw'okubulwa ensimbi

 Abazannyi ba Nkumba

Abazannyi ba Nkumba

Bya GERALD KIKULWE

ABAZANNYI ba yunivasite y'e Nkumba basitudde okugenda mu mpaka za Women's African Club Volleyball Championship nga tebawera, lwa bbula lya ssente. Baagenze 12 mu kifo ky'e 16.

"Tumaze ebbanga nga tunoonya obukadde 75 naye teziweze. Wabula wadde tugenze tetuwera, tetugenda kuva ku mulamwa era tugenda kuzannya na maanyi okulaba nga tumalira mu ttiimu 8 ezisooka, tuwanike bendera ya Uganda," Tonny Lakony, atendeka Nkumba bwe yategeezezza.

Sizoni ewedde, Nkumba yasitukira mu bikopo bibiri okuli ekya ttiimu empanguzi mu ggwanga (National Club Volleyball Championship) n'ekya liigi, era kino kye kyagiyisaawo okukiikirira Uganda mu za Afrika.

Ttiimu yasitudde ku Lwakuna okwolekera Cairo ekya Misiri,  awagenda okubumbujjira empaka  okutandika ku Lwomukaaga (March 16), zikomekkerezebwe nga March 25.

Guno gwe mulundi ogwokuna nga Nkumba yeetaba mu mpaka za Afrika. Sizoni ewedde baamalira mu kyamwenda ku ttiimu 21. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Eyakedde mu Kampala bamukub...

POLIISI mu Kampala etandise omuyiggo okuzuula abavubuka abateega n'okukuba abantu abakeera mu kibuga okuyiiya....

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.