TOP

Zidane attukizza eby'okukansa De Gea owa ManU

Added 17th March 2019

Okuva Courtois lwe yajja mu Real, omutindo gwe gwaddirira nnyo nga ku gwa Celta Vigo, baamutuzizza.

 David De Gea omukwasi wa ggoolo ya ManU.

David De Gea omukwasi wa ggoolo ya ManU.

OMUTENDESI wa Real Madrid Omuggya, Zinedine Zidane yandittukiza eby'okukansa omukwasi wa ggoolo ya ManU, David De Gea mu katale k'abazannyi aka June.

Kiddiridde Zidane eyaakadda mu Real okusuula Thibaut Courtois ku mupiira mwe baawangulidde Celta Vigo ggoolo 2-0 ku Lwomukaaga.

Ensonda zaategeezezza nti Courtois si ye mukwasi wa ggoolo Zidane gw'amatira era kimu ku byavaako obutakkaanya wakati wa Florentino Perez ne Zidane.

 

 hibaut ourtois akwatira mu eal mu kiseera kino Thibaut Courtois akwatira mu Real mu kiseera kino.

 

De Gea tannasa mukono ku ndagaano mpya mu ManU era abakungu mu ttiimu eno babadde balinze sizoni eggweeko bamuwe endagaano ensava.

Wano Zidane w'ayagala okusinziira amupasule. ManU eyagala kumuwa mitwalo gya pawundi 35 buli wiiki sso nga Real esuubirwa okuzisussa.

Real yawanduse mu bikopo byonna okuli; Champions League ne Copa del Rey nga ne mu liigi, bali mu kyakusatu nga Barcelona ekulembedde, ebasinga obubonero mwenda nga bagisinza omupiira gumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...