TOP

ManU erina okumalira mu bifo ebina ebisooka - Matic

Added 18th March 2019

ManU esigazizza emipiira munaana gy'erina okuwangula ate nge bw'esabirira b'evuganya bakole ensobi.

 Ander Herrera owa ManU (ku kkono) ng'attunka ne Diogo Jota owa Wolves mu gwa FA Cup ku Lwomukaaga.

Ander Herrera owa ManU (ku kkono) ng'attunka ne Diogo Jota owa Wolves mu gwa FA Cup ku Lwomukaaga.

OMUWUWUTTANYI wa ManU, Nemanja Matic alabudde ttiimu bwe bavuganya ku bifo ebina ebisooka nti zeegendereze kuba bagenda kudda na nkuba mpya baddemu okuwangula emipiira gyabwe.

ManU yakubiddwa Arsenal (2-0) mu gwe baasembyeyo mu Premier sso nga ne mu FA Cup, baakubiddwa Wolves (2-1), wano abatawagira ManU we basinzidde okugamba nti batabani ba Ole Gunnar Solskjaer baweddemu.

Matic yategeezezza nti baakugenda mu maaso n'olutalo lwabwe olw'okulwanira ebifo ebina ebisooka lukyagenda mu maaso era Arsenal, Chelsea ne Spurs lukyagenda mu maaso.

 

ManU yaakutaano ku bubonero 58 mu mipiira 30 era erina kuwangula mipiira gyayo nga bw'esabirira Arsenal ne Spurs zisuule bw'eba yaakudda mu bifo ebina ebisooka.

"Obubonero buna bwokka bwe bwawula ali mu kyokusatu n'abali mu kyomukaaga. Tulina okulwana okulaba nga tumalira mu bana era abatuli waggulu, batwerinde," Matic bwe yagambye n'agattako nti buli mupiira bagenda kuguzannya nga fayinolo.

Akalulu ka ‘quarter' za Champions League, ManU kaagisudde ku Barcelona ekifudde emikisa gyayo okuyitamu okugenda ku semi emitono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...