TOP

ManU esattira lwa buvune bwa Lukaku ne Luke Shaw

Added 20th March 2019

Okuva Solskjaer lwe yajja, Lukaku y'omu ku bazannyi ababadde bezzizza obuggya ne bayamba ttiimu okuwangula.

Lukaku omuteebi wa ManU abasattiza olw'obuvune..

Lukaku omuteebi wa ManU abasattiza olw'obuvune..

Enkambi ya ManU eri mu kasattiro okulaba ng'omuteebi waayo, Romelu Lukaku awona mu kaseera nga bagenda kuttunka ne Watford mu gwa Premier.

Lukaku yasubiddwa ogwa FA Cup bwe baabadde bakubwa Wolves ggoolo 2-1 olw'akagere akamuluma era bwe yagenze ku y'eggwanga eya Belgium ku Mmande ne bamusindika mu sikaani bongere okumwetegereza.

Oluvannyuma lw'emipiira gya ttiimu gy'amawanga, ManU erina emipiira emizibu okuli ogwa Watford, Man City n'emirala era omutendesi Ole Gunnar Solskjaer atuuyana zikala okulaba ng'omuzannyi we ono awona mu budde

Okuva Solskjaer lwe yajja, omutindo gwa Lukaku gubadde musuffu era ng'ateebye ggoolo mukaaga mu mipiira ena egisembye.

ManU ekubiddwa emipiira ebiri egisembye okuli ogwa Premier bwe baakubiddwa Arsenal (2-0) ssaako ogwa Wolves gwe yabakubye (2-1) mu FA Cup.

Wano Solskjaer w'ayagala okutandikira okuzza ttiimu ku maapu yeewale okusubwa okumalira mu bana abasooka.

Mu ngeri y'emu, Luke Shaw naye yavudde ku ttiimu ya Bungereza egenda okwambalagana ne  Czech Republic lwa buvune.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abatuuze gwe balumiriza oku...

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa...

Omugagga Katumwa

Omugagga Katumwa ayimbuddwa...

OMUGAGGA David Katumwa ayimbuddwa n’ayogera b’agamba nti bebali emabega w’okumusibisa. Katumwa okuyimbulwa baamuggye...