TOP

Bumate United FC etanziddwa emitwalo 50 mu Big League

Added 22nd March 2019

Bumate United FC etanziddwa emitwalo 50 mu Big League

Bya Gerrald Kikulwe

Egyazannyiddwa mu Big League

Kireka United FC 0-1 Water FC

Kabale Sharp FC 2-0 Kansai Plascon

Ntinda United FC 2-1 Bumate United FC

Amuka Bright Stars FC 1-0 Entebbe FC

Kataka FC 1-1 Nebbi Central  FC

Bukedea T/C FC 0-1 UPDF FC

JMC Hippos FC 2-1 Doves All Stars FC

Wakiso Giants FC 0-0 Kyetume FC

Proline FC 5-0 Kira United FC

TTIIMU ya Bumate United FC mu Big League etanziddwa emitwalo 50 n'esalwako obubonero 6 ne ggoolo 6, era ssaawa yonna yandigobwa mu liigi eno okudda mu Liigi eyokuna lwa kugaana kuzannya mipiira gyakubugenyi.

Bumate ku lwokuna yakubiddwa Ntinda United FC (2-1) e Lugogo wabula okubakkiriza okuzannya omupiira guno b'asoose kugasimbagana n'akakiiko akakwasisa empisa mu FUFA nga bavunaanibwa okugaana okukyalira Doves FC mu kitundu kya liigi ekyasooka ate ne Kabale Sharp nga February 28.

Aisha Nalule akulira okutegeka empaka mu FUFA agamba nti okusinziira ku tteeka erifuga empaka nnamba 24 akawaayiro(4 ne 5), buli ttiimu etaasobole kuzannya mupiira erina okuwandiikira FUFA ng'essaawa 48 tezinayita omupiira okuzannyibwa. Bw'eremererwa okukikola mu budde, esalwako obubonero oba okugobwa mu liigi n'edda mu ya wansi.

"Bumate yaakalemererwa okukyala enfunda bbiri era akakiiko kaagiwaddeyo omukisa gumu gwokka, ssinga eddamu okugalabanja emipiira mu Big League ezannyire mu liigi eyokuna(4thDivision), wabula yasaliddwaako obubonero 6 ne ggoolo 6 sizoni eno ate n'etanzibwa emitwalo 50," Nalule bwe yakakasizza.

Geofrey Nyamwongera akola ku by'emirimu mu ttiimu ya Bumate agamba nti bino byonna okubeerawo kiva ku bbula lya ssente, ttiimu eyambibwako ba kyalo nga bagisondera ssente naddala mu kukyala, oluusi ensimbi zigaana, ttiimu terina mutendesi, abazannyi oluusi bagaana okuzannya olw'obutasasulwa bulungi n'ebirala bingi.

Wabula yakakasizza nga bwe bagenda okulwanyisa eky'obutagobwa mu liigi nga bazannya emipiira gyonna(4) gye basigazzaayo naye ne yeemulugunyamu olwa FUFA okuba nga tenabawa mugabo gwa ssente za Big League okuva mu bavuggirizi aba Star Times.

Eno kati ye ttiimu eyokusatu okuli Kabale Sharp FC ne JMC Hippos mu Big League okusalwako obubonero olw'obutazannya mipiira gyabwe sizoni eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....