TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Nnyina wa Salah amulabudde okugwa abakyala mu bifuba

Nnyina wa Salah amulabudde okugwa abakyala mu bifuba

Added 27th March 2019

Salah ye yalya eky'obuteebi bwa sizoni bwe yateeba ggoolo 32.

 Salah omuteebi wa Liverpool.

Salah omuteebi wa Liverpool.

NNYINA wa ssita wa Liverpool, Mohamed Salah alabudde mutabani we ku ky'okugenda ng'agwa mu bifuba by'abawala ssaako okubeemanyiiza nti kijja kumuttira amaka.

Salah, ataazannyidde Misiri bwe baabadde balemagana 1-1 mu gusembayo mu z'okusunsulamu abalizannya eza Afrika ku Lwomukaaga, yatadde ekifaananyi kye ng'aguddde mu kifuba ky'omuwala ku twitter, olwo ne kitandika okusaasaana.

 alah ngagwa mu kifuba kyomuwala Salah ng'agwa mu kifuba ky'omuwala.

 

Nnyina wa Salah olwakirabye n'amulumba n'amugamba nti, "Mwana wange weerabidde nti oli mufumbo? Lwaki oyagala okumenya mukyalawo omutima!"

Salah yeewozezzaako nti, "Maama tewali kiriwo n'omuwala ono era toba na kutya."

Wabula nnyina wa Salah mu kwanukula, yagambye mutabani we nti ajjukire nti Musiraamu era alina okugondera amateeka gaabwo. Salah yawasa mukyala we Magi mu 2013.

Salah y'omu ku bazannyi abasinze okuzannyira Liverpool emipiira emingi sizoni eno (40) era ennaku zino tali ku ffoomu lwa bukoowu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...