TOP

Omuzannyo omupya gugguse mu Uganda

Added 8th April 2019

Abasomesa abasoba mu 60 babanguddwa mu muzannyo omupya ogwa Gateball

 Oweby'ekikugu mu kibiina kya Uganda Gateball Union, Benson Kanyesigye, ng'alaga abamu ku basomesa engeri omuzannyo guno gye guzannyibwamu

Oweby'ekikugu mu kibiina kya Uganda Gateball Union, Benson Kanyesigye, ng'alaga abamu ku basomesa engeri omuzannyo guno gye guzannyibwamu

 

ABASOMESA 65 abavunaanyizibwa ku byemizannyo mu masomero ag'enjawulo mu disitulikiti y'e Butambala,  babanguddwa mu muzannyo gwa gateball.

Omuzannyo guno gwefaananyirizaako woodball ne golf, ng'ejawulo eri nti gwetabwamu abazannyi bataano buli ludda n'abalindidde ebweru basatu, nga bazannyira  eddakiika 30.

Buli ttiimu eyambala obujoozi obuliko ennamba, nga wabeerawo ekulembera nga y'eteekeddwa okukozesa obupiira obumyuufu obuliko ennamba ez'ensuusuuba ‘odd numbers' (1, 3, 5, 7 ne 9), n'egobererwa ekozesa obweru nga buliko ennamba z'osobola okugabisaamu bbiri (2) oba ‘even numbers' (2, 4, 6, 8 ne10). Omupiira gukubibwa  n'akati ne guyita mu ggoolo entono ssatu  eziteekebwa ku kisaawe n'akati ke basimba wakati.

Ekisaawe kibeerako mmita 15, obusimba n'obuwanvu bwa mmita 20. Buli kapiira bwe kayita mu ggoolo, ttiimu efuna akabonero kamu ate bwe kakuba akati akateekebwa wakati buba bubiri.

Bw'okuba akapiira ne katayita mu ggoolo esooka, ng'oddayo emabega mu lunyiriri okutuusa ennamba gy'oyambadde lw'eddamu okutuukibwako n'olyoka ozannya.

 "Twagala omuzannyo guno gukule, kyokka nga kino tekinnabaawo tulina okusooka okugwagasiza amasomero nga tuyita mu kutendeka abakulira emizannyo abanaagubunya mu bayizi baabwe," Robert Bakaze, pulezedenti w'ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga, ekya Uganda Gateball Union  bwe yategeezezza ng'asinziira ku Gombe SS awabadde omusomo guno ku Lwomukaaga.

Omuzannyo guno gwatandikira Japan mu 1947 okuyamba ababeera bafunye obuzibu mu bulamu, ne guleetebwa  mu Uganda mu 2017. Mu kiseera kino guzannyibwaamawanga 50 mu nsi yonna.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...