TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Chelsea ne Arsenal zeesimbye mu muzibizi wa Spurs

Chelsea ne Arsenal zeesimbye mu muzibizi wa Spurs

Added 14th April 2019

Endagaano ya Alderweireld mu Spurs eggwaako sizoni ejja era ttiimu ez'enjawulo zaagala kumuggyayo.

 Toby Alderweireld omuzibizi Arsenal ne Chelsea gwe zaagala.

Toby Alderweireld omuzibizi Arsenal ne Chelsea gwe zaagala.

Arsenal ne Chelsea ze zikulembedde olwokaano lw'okukansa omuzibizi wa Spurs, Toby Alderweireld.

 

Omuzannyi ono endagaano ye ebulako omwaka gumu kyokka bwe wabaawo ttiimu yonna eyagala okumukansa, yaakulinda mu bbanga lya wiiki bbiri ng'akatale kaggweeko kuba akawaayiro k'obukadde 25 akali mu ndagaano ye kaba tekakyakola.

 

ManU ye ttiimu eyasooka okwogereza Alderweireld kyokka kigambibwa nti mu kaseera kano, Chelsea ne Arsenal ze zirina enkizo.

 

Ekimu ku byagala okuggya

Alderweireld mu Spurs kya kuba nti ttiimu eno eremeddwa okuwangula ebikopo okuva lwe yagyegattako.

 

Tewannabaawo ttiimu ewaayo kusaba kwayo mu butongole kyokka Spurs esuubira ttiimu okujja nga zimuyaayanira ng'akatale kaweddeko.

 

Omutendesi wa Arsenal, Unai Emery yategeeza gye buvuddeko nti ttiimu ye yeetaaga omuzibizi ayinza okuggumiza ekisenge era kye kimu ku bifo by'ajja okusookerako okuguliramu omuzannyi ng'akatale kaweddeko.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.