TOP
  • Home
  • Ebirala
  • City Oilers etandikidde we yakoma mu basketball

City Oilers etandikidde we yakoma mu basketball

By

Added 14th April 2019

Ttiimu ya City Oilers, eraze nga bw'eyagala okuddamu okuwangula ekikopo kya liigi bw'ekubye Betway Powers mu guguddewo liigi

 David Opolot (ku kkono) owa Betway Powers, ng'agezaako okuyita ku Tony Drileba owa City Oilers

David Opolot (ku kkono) owa Betway Powers, ng'agezaako okuyita ku Tony Drileba owa City Oilers

JKL Lady Dolphins 70-49 KCCA Leopards (abakazi)

MUK Sparks 41-62 KIU Rangers(abakazi)

Betway Powers 66-69 City Oilers (abasajja)

CITY OILERS,  bannantameggwa ba liigi ya basketball emirundi mukaaga egy'omuddiring'anwa, baatandikidde we baakoma sizoni ewedde, bwe bawangudde Betway Powers ku bugoba 69-66 mu gwaguddewo liigi.

Mu gwaggulawo sizoni ewedde, Betway Powers yakuba City Oilers ku bugoba 64-56, wabula ensisinkano zonna ezaddako City Oilers n'eziwangula.

Betway Powers yatandikidde mu ggiya era ekitundu ekisooka yakomazeeko ekulembedde n'obugoba 36-30, ekyawadde abawagizi amaanyi nti bayinza okufuna ku ssanyu, naye City Oilers teyabaganyizza.

Jimmy Enabu, kapiteeni wa City Oilers, yagambye nti  wadde balina ebikopo mukaaga, bagenda kuzannya ng'abanoonya ekisooka kubanga baagala kumenya likodi.

City Oilers ne Falcon be bakyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi mukaaga buli omu.

 

 

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...