TOP

Aba hockey babinuka masejjere

Added 14th April 2019

Abakulira omuzannyo gwa hockey basambira mabega nga jjanzi, kkampuni ya Uganda Baati bwe baayiyeemu kavvu.

   George Arodi (mu ssuuti) ne kitunzi waayo, Macklean Ainebyoona nga bakwasa aba UHA ceeke

George Arodi (mu ssuuti) ne kitunzi waayo, Macklean Ainebyoona nga bakwasa aba UHA ceeke

 

Ab'omuzannyo gwa Hockey, babinuka masejjera oluvannyuma lw'okuyiikamu kavvu wa bukadde 20, ezibaweereddwa kkampuni ya Uganda Baati, okuddukanya liigi y'eggwanga.

Ceeke baagibakwasirizza ku kitebe kya kkampuni eyo mu Industrial Area, era agikulira George Arodi,  yategeezezza nti baagala kutumbula muzannyo guno Uganda esobole okuvuganya obulungi mu mpaka z'okusunsulamu abanaazannya mu Olympics e Japan omwaka ogujja.

"Hockey gwe gumu ku mizannyo egirudde mu Uganda ,wabula gusuuliriddwa, kye tuvudde tusalawo okugudduukirira," Arodi bwe yagambye.

Ye akulira ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga, ekya  Uganda Hockey Association (UHA), Lydia Sanyu Dhamuzungu, yategeezezza nga bwe balina ennyonta y'okuzza Uganda mu Olympics gye yasemba okubeera mu  gyali mu  Zurich mu Switzerland mu 1972.

"Tugenda kuwa ttiimu ezinaawangula liigi ebirabo, okusasula baddiifiri, okutimba ekisaawe e Lugogo wamu n'okulaanga liigi yaffe. Liigi bw'eneeyongeramu okuvuganya, tujja kufuna abazannyi abalungi mu mpaka ez'okunsulamu eziribeera mu South Afrika, " Dhamuzungu bwe yannyonnyodde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo