
Ligt
OLUVANNYUMA lwa Barcelona okubawandula mu Champions League, abamu ku bawagizi ba ManU balagidde abakungu ba ttiimu eno okutandika okusaggula abazannyi abanaagiggumiza sizoni ejja.
Mu kiro ekyakeesezza leero ku Lwokusatu, Barcelona yakkakkanye ku ManU n'egiwuttula ggoolo 3-0. Wadde ManU yagenze e Spain yeesomye okuggyamu Barcelona, ebintu byagitabuseeko ne bagisaasaanya akapiira ne bagikuba.
Olw'obutaagala kyabatuuseeko kuddamu kubaawo sizoni ejja nga ttiimu endala zigiyenjubula gityo, ku luno abawagizi baagala bagule omuzibizi Matthijs de Ligt.
Ligt, wa myaka 19 ng'azannyira Ajax eyawanduddemu Juventus ku ggoolo 2-1 mu Champions League. Omuzannyi ono, ye yateebye emu ku ggoolo ze baakubye Juventus era omutindo gwayolesa ensangi zino, gusikirizza abawagira ManU okwagala okumuperereza.