TOP

Emery atadde abazannyi 7 ku katale

Added 23rd April 2019

Emery, ayagala kuggumiza ttiimu ye sizoni ejja era agamba nti abamu ku bazannyi b’alina, tebajja kumukolera k'abatunde agule abalala.

Emery

Emery

UNAI Emery, atendeka Arsenal atadde abazannyi 7 ku katale n'ategeeza ttiimu ezibaagala, okubagula.


Emery, eyasikira Arsene Wenger ku butendesi bwa ttiimu eno sizoni ewedde, ayagala kuggumiza ttiimu ye sizoni ejja era agamba nti abamu ku bazannyi b'alina, tebajja kumukolera kwe kwagala okubatunda olwo afunemu ensimbi ezinaakugula abazannyi b'ayagala.


Gw'asoosezza ku lukalala ye Shkodran Mustafi, omu ku bazannyi abaazannye amanyanga nga bakubwa Crystal Palace (3-2) ku wiikendi era n'abakungu baayo bagamba nti bukya agulwa mu Valnecia ku nsimbi obukadde bwa pawundi 35, tannazza magoba.


Mu bazannyi abalala b'ayagala waakiri okuwaanyisaamu kwe kuli ne ssita wa ttiimu eno; Mesut Ozil ne Henrikh Mkhitaryan kyokka ng'era abanaayagala okugula Mohamed Elneny ne Carl Jenkinson nabo abaaniriza. Mu balala b'atunda kuliko Calum Chambers ne David Ospina be yali yayazika ttiimu endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abatuuze gwe balumiriza oku...

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa...

Omugagga Katumwa

Omugagga Katumwa ayimbuddwa...

OMUGAGGA David Katumwa ayimbuddwa n’ayogera b’agamba nti bebali emabega w’okumusibisa. Katumwa okuyimbulwa baamuggye...