TOP

Atendeka ManU akyalina essuubi

Added 25th April 2019

Solskjaer agamba nti tannalowooza ku kya ManU kuzannyira mu Europa kuba ekyaliyo emipiira egimusobozesa okudda mu bana abasooka mu Premier.

Solskjaer

Solskjaer

OMUTENDESI wa ManU, Gunnar Solskjaer akyalina essuubi ly'okumalira mu bana abasooka mu Premier, abazannya mu mpaka za Champions League mu sizoni eddako.


Kino kiddiridde ManU gy'atendeka, okukubwa Man City ggoolo 2-0 ku Old Trafford ku Lwokusatu ne balinnya eggere mu kaweefube waayo ow'okumalira mu bana abasooka. ManU kati eri mu kifo kyamukaaga nga Chelsea er mu kyokuna (egisinza obubonero 2) ne Arsenal z'esuubira okuggyayo mu kifo.


Solskjaer agamba nti tannalowooza ku kya ttiimu ye kugenda mu Europa kuba akimanyi  nti ttiimu z'avuganya nazo ku kifo ekyokuna, okuli Chelsea ne Arsenal zikyasobola okusuulayo omupiira mw'egyo esatu egibulayo, yo (ManU) n'egiyitako.
"Tugenda kuzannya Chelsea ku Ssande era nnina essuubi nti tusobola okugikuba ekinaatuyamba ne tugiggya mu kifo," Solskjaer bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...