TOP

Ab'ekisulo kya Nyerere bawangudde ez'ebisulo

Added 27th April 2019

Abayizi ba Seeta High Mukono balaze ebitone byabwe mu mpaka wakati w'ebisulo ku ssomero lino era Nyerere be bawangudde.

     Omukulu w'essomero Boniface Ssebukalu (ku kkono mu T-shirt emmyuufu) ne Stephen Wakheya nga bakwasa ennyumba ya Nyerere ekikopo kye baawangudde.

Omukulu w'essomero Boniface Ssebukalu (ku kkono mu T-shirt emmyuufu) ne Stephen Wakheya nga bakwasa ennyumba ya Nyerere ekikopo kye baawangudde.

Bya Madinah Sebyala

Ekisulo kya Nyerere kiwangudde akakadde kamu n'ekitundu ssaako ekikopo oluvannyuma lw'okuwangula ebisulo ebirala bisatu mu mizannyo egy'enjawulo ku ssomero lya Seeta High Mukono ku kisaawe kyabwe e Mbalala.

Aba Nyerere baayolesezza obukodyo mu kuwuga, okusamba omupiira n'omuzannyo gw'ensero ne bafuna obubonero 18.

Baddiriddwa ekisulo kya Lumumba ku bubonero 15, Mandela yafunye 14 ne Nkrumah abaasinze mu misinde ne bafuna 8.

 Omukugu mu byemizannyo eyakulidde abaasaze empaka zino, Fred Balenzi  yagambye nti, "Abayizi bano balina ebitone ebyetaaga okwongeramu amaaso bafuuke ensonga mu ggwanga."

 bekisulo kya yerere nga bajaganya nekikopo kye baawangudde Ab'ekisulo kya Nyerere nga bajaganya n'ekikopo kye baawangudde

 

Baabadde ku ssomero lya Seeta High Mukono Campus ku Easter Mande ku lunaku lwe boolesezaako ebitone buli  mwaka.

Omukulu w'essomero, Bonifance Ssebukalu bwe yabadde akwasa aba Nyerere abawangudde ekikopo n'akakadde kamu n'ekitundu ez'okugula ente ssaako aba Lumumba abaafunye ekikopo ne 500,000/-  

yagambye nti ng'essomero bafaayo okusitula ebitone by'abayizi kuba baagala bafulumye omuyizi nga yeemalirira mu buli kimu omuli eby'okusoma ebiri ku mutindo, eddiini, ebyemizannyo, okusitula ebitone byabwe omuli okuyimba ne  katemba kisobozese abayizi okweyimirizaawo.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu