TOP

Aba Express bubeefuse ne Bright Stars

Added 28th April 2019

Abazannyi ba Express n'aba Bright Stars bagwang'anye mu malaka mu semi za Stanbic Uganda Cup

Abazannyi nga basikang'ana ebitogi

Abazannyi nga basikang'ana ebitogi

EBIKONDE katono binyooke mu mupiira wakati wa Bright Stars FC ne Express FC abazannyi bwe bagwananye mu malaka oluvannyuma lwa Andrew Kaggwa okuzannyisa ettima ku Arthur Kiggundu. Bright Stars yabadde ekyazizza Express FC e Mwererwe mu luzannya  olusooka ku semi y'empaka za Stanbic Uganda Cup.

Ddifiiri Ashadu Ssemere n'abatendesi ba Express abaakulembeddwa George Ssimwogerere, James Magala ne Yusuf  Balyejjusa badduse mu kisaawe okutaawulula abazannyi baabwe n'aba Bright Stars abaabadde batandise okusikang'ana ebitogi oluvannyuma lw'omuzibizi wa Bright Stars Andrew Kaggwa okulinnya Arthur Kiggundu mu ngeri embi ennyo.

 am enkoomi owa right tars  ku kkono ngalwanira omupiira ne icheal irungi owa xpress  mu gwoluzannya olusooka ku semi ya tanbic ganda up Sam Senkoomi owa Bright Stars FC (ku kkono) ng'alwanira omupiira ne Micheal Birungi owa Express FC mu gw'oluzannya olusooka ku semi ya Stanbic Uganda Cup

 

Embeera bwe yakkakkanya nga Kaggwa aweereddwa kaadi emmyuufu, ate olutalo lw'abawagzi abaabadde bakasuka amayinja mu kisaawe nalwo ne lukooreera ekyaviriiddeko omupiira okuwummula okumala eddakiika nga 10.

Oluvannyuma abaserikal baayongeddwa ku kisaawe omupiira ne gugenda mu maaso.

Omupiira gwawedde ggoolo 1-1 ng'eya Express yateebeddwa Micheal Birungi mu ddakiika eya 50  ate eya Bright Stars eyabadde eya peneti n'eteebwa Nelson Ssenkatuuka oluvannyuma lw'eddakiika ssatu zokka

Ssimwogerere yategeezezza nti Express mumativu n'amaliri ge baafunye e Mwereerwe, n'asuubiza nti e Wankulukuku baakuwangula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...