TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Aba Express ne Bright Stars bagwang'anye mu malaka e Mwererwe

Aba Express ne Bright Stars bagwang'anye mu malaka e Mwererwe

Added 29th April 2019

EBIKONDE katono binyooke mu mupiira wakati wa Bright Stars FC ne Express FC abazannyi bwe bagwananye mu malaka nga oluvanyuma lwa Andrew Kaggwa okuzannyisa ettima ku Arthur Kiggundu nabulako katono okumummenya okuggulu.

 Abazannyi nga basikangana ebitogi

Abazannyi nga basikangana ebitogi

Bright Stars 1-1 Express FC

Bright Stars yabadde ekyaziiza Express FC e Mwererwe mu gw'oluzannya olusooka ku semi y'empaka za Stanbic Uganda Cup.

Ddifiiri Ashadu Ssemere n'abatendesi ba Express abakulembeddwa George Ssemwogerere, James Magaala ne Yusuf  Balyejjusa badduse mu kisaawe okutaawulula abazannyi baabwe m'aba Bright Stars ababadde batandise okusikangana ebitogi oluvanyuma lw'omuzibizi wa Bright Stars Andrew Kaggwa okulinya Arthur Kiggundu mu ngeri embi ennyo.

Oluvanyuma lw'embeera okukakkana nga Kaggwa awereddwa kaadi emyufu ate olutalo lw'abawagzi ababadde bakasuka amayinja mu kisaawe nalwo ne lukoreera ekyaviriiddeko omupiira okuwumula okumala eddakiika nga 10.

Omupiira gwawedde ggoolo 1-1 ng'eya Express yateebeddwa Micheal Birungi mu ddakiika eya 50' ate eya Bright Stars eyabadde eya peneti neteebwa Nelson Ssenkatuuka oluvanyuma lw'eddakiika satu zokka

Ssimu tamatidde.

Oluvanyuma lw'omupiira George Ssemwogerere atandeka Express FC yategeezezza nti abazannyi be bazannyisiza bumalirivu era mumativu n'amaliri gebafunye mu kisaawe ky'e Mwererwe ekibi ekitaganya ttiimu zisambako okugyako okukubayo obukubi omupiira.

"Ekisaawe kino kibi nnyo tekikiriza ttiimu kuzannya ku upiira okugyako okusimulayo obusimuzi ekyetaagisa okukozesa maanyi amangi. Mu mbeera eno ndi mumativu ne kyetusobodde okufuna mu mupiira gwa leero naffe katubalinde ewaffe zidde okunywa.' Ssemwogerere bwe yategeezezza.

Ne Paul Kiwanuka amyuka omutendesi wa Bright Starsnaye yagambye nti omupiira gwabakaluubiriddemu naddala oluvanyuma lw'okufuna kaadi emyufu wabula bagenda kwetegekera ogw'okuddingana e Wankuluku era akiriza nti balina obusobozi obukubira Express omwayo.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...