TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Aubameyang atidde okusanga Chelsea ku fayinolo

Aubameyang atidde okusanga Chelsea ku fayinolo

Added 4th May 2019

Aubameyang agamba nti ayagaliza Frankfurt y'eba etuuka ku fayinolo ya Europa League.

Lacazette ne Aubameyang aba Arsenal

Lacazette ne Aubameyang aba Arsenal

OMUTEEBI wa Arsenal, Emerick Aubameyang atidde okusanga Chelsea ku fayinolo ya Europa.

Arsenal, eringa eyeebalira ku fayinolo ya sizoni eno oluvannyuma lw'okuwangula Valencia (3-1) mu luzannya lwa semi olwasoose. Mu gw'okudding'ana wiiki ejja, Arsenal ne bw'ebukwa ggoolo 2-1 eba eyitawo.


Yo Chelsea nga yagudde maliri ne Frankfurt (1-1) yeetaaga buwanguzi okwesogga fayinolo. Wabula nga Arsenal bwe yamaze dda okwebalira ku fayinolo, ye Aubameyang atandise okukubaganyaamu ebirowoozo ku ttiimu gy'atayagala kusanga era agamba nti okusanga Chelsea, waakiri Frankfurt eyitewo gye baba bazannya nayo.


"Ndabanga Frankfurt ennyangu ey'okuwangula okusinga ku Chelsea," Aubameyang bwe yategeezezza. Wabula Arsenal y'esembyeyo okukuba Chelsea (2-1) mu Premier mu January w'omwaka guno.

Arsenal eruubirira kuwangula Europa, ekozese omukisa guno ekiike mu Champions League sizoni ejja kuba eby'okumalira mu kifo ekyokuna mu Premier, erina kusaba nnyo. Mu kiseera kino, Arsenal eri mu kifo kyakutaano mu Premier ng'ebula emipiira 2 liigi eggwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...

Pulaani y'okulonda mu 2021 ...

KU Lwokuna nga January 14, 2021 lwe lunaku lw’okulonderako ababaka ba Palamenti mu ggwanga lyonna. Omulamuzi Simon...

OC asse omutuuze e Lugala -...

OLUTALO poliisi mwe yakubidde omutuuze amasasi n’afiirawo lwatandise na kusobya ku mukazi eyakedde okugenda okukola...

Poliisi ewadde gwe yakuba e...

Poliisi yeetondedde omukazi omukadde eyakwatibwa ku katambi nga ofiisa waayo amuweweenyula kibooko.

Jjingo mutabani wa Yiga Mbizzaayo

Taata akyali mulamu tteke -...

Mutabani wa Paasita Yiga akakasizza nti kitaawe akyali mulamu katebule.