TOP

Owa Ajax awese ManU ekikuubo

Added 7th May 2019

Eyali atendeka ManU, Van Gaal agamba nti ManU tegenda kuzannya Champions League noolwekyo bassita tebasaanye kugyegattako

Ligt

Ligt

OMUZIBIZI wa Ajax, Matthijs de Ligt yeepenye ManU olwa Louis van Gaal okumutemyako.


Ku myaka 19, Matthijs de Ligt alaze ekitone ekisikirizza ttiimu za Bulaaya ezimu era ne ManU n'etandika okumuperereza ng'emusuubizza n'omusaala omusava.


Wabula olugendo lwa ManU okuperereza Matthijs de Ligt luzzeemu kigoye weezinge, olwa Van Gaal eyatendekako ManU okumuwabula. Van Gaal, yazzizza akavubuka kano ebbali, n'akategeeza nga bwe katalina kugenda mu ManU kuba tegenda kuzannya mu Champions League sizoni ejja.


Van Gaal yakubye Matthijs de Ligt akaama nti bw'aba ayagala kuva mu Ajax, waakiri agende mu Man City oba Barcelona sso si ManU evuya esangi zino.

Wabula ne Liverpool yeenyize mu lwokaano lw'okuwagala okugula omuzannyi ono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...