TOP

Kitunzi wa Pogba akaligiddwa

Added 11th May 2019

Kitunzi wa Pogba akaligiddwa emyezi 3 nga teyeenyigira mu bya kutunda bazannyi

Pogba

Pogba

EKIROOTO kya Paul Pogba okwegatta ku Real Madrid, kitaataaganyiziddwa, kitunzi we bw'akaligiddwa FIFA.


Kitunzi wa Pogba ye Mino Raiola era y'abadde alina okukwasaganya ensonga ze ez'okuva mu ManU okudda mu kiraabu endala. Wbaula Raiola, yasoose kukaligibwa kibiina ekifuga omupiira mu Yitale ne kimussaako ekibaluwa obutaddamu kukwataganya bya kutunda bazannyi mu Yitale okumala myezi 3 wadde ng'ensonga emukaliza, tezinnayatulwa.

Kyokka Yitale ebadde yaakamukagaliga, n'ekibiina ekifuga omupiira mu nsi yonna ekya FIFA, nakyo ne kifulumya ekiwandiiko ne kitegeeza nti bamukalize kwetoloola nsi yonna okumala emyezi 3 nga takkirizibwa kukwasaganya bya kutunda oba kugula bazannyi kyokka ng'emyezi mwe kimukaligidde, mwe muli akatale k'abazannyi era nga kye kiseera, Pogba mw'alina okuviira mu ManU singa eba esazeewo okumutunda.


FIFA ne Yitale ezimukaliga teziwa nsonga eziviiriddeko okukola kino kyokka kigambibwa nti zandiba nga zivudde ku ddiiru gye yakola mu kuggya Gianluca Scamacca' mu Roma okumutwala mu PSV.


Pogba, azze akyogera nti ayagala kwabulira ManU agende mu Real kyokka ng'era n'omutendesi wa Real, Zinedine Zidane naye alabika amwetaaga wadde ng'abakungu ba ManU ab'oku ntikko, balabikanga abatali beetegefu kumutunda.
Nga kitunzi we bw'akaligiddwa, kyandimubeerera ekizibu okuva mu ManU kati okwegatta ku Real Madrid

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

Batabukidde omusamize mu lu...

ABATUUZE b’e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n’abawamba...