TOP

Mbarara High ekomye ku munaabo

Added 14th May 2019

Mbarara High erinze mpaka za mwaka gujja oluvannyuma lw'okuwandulwa mu ziyindira e Jinja olw'okuzannyisa ' omucuba'

 Aziz Kayondo ( mu mujoozi ogwa bbulu), owa) St. Mary's SS Kitende ng'atangira Titus Wambedde owa Mbarara High

Aziz Kayondo ( mu mujoozi ogwa bbulu), owa) St. Mary's SS Kitende ng'atangira Titus Wambedde owa Mbarara High

Bya BRUNO MUGOODA

TTIIMU ya Mbarara High ekomye ku munaabo bw'eremereddwa okweyongerayo ku luzannya lwa ttiimu 16 mu mpaka z'amasomero eza COPA Coca Cola.

Ku nkomerero y'emipiira gy'ebibinja ku Mmande, Mbarara yabadde ekung'aanyizza obubonero 14, ng'erindidde okuyitamu ne Kitende eyakulembedde ekibinja E ku bubonero 16, kyokka ne bakabatema nga bwe bagyiddwaako obubonero 3 olw'okuzannyisa omuzannyi eyagobwa mu mpaka zino.

Iganga Parents ye yeekubidde enduulu mu kaakiiko akategesi, ke yategeezezza nti Mbarara yazannyisa Peter Odeke ng'ebawangula mu mupiira ogwaggulawo empaka zino.

Odeke, yali yagobwa dda mu mpaka z'omwaka oguwedde ezaali e Mbarara oluvannyuma lw'okuzuulibwa nti akuliridde. Mu mpaka ezo yali azannyira Hill View.

Mbarara bw'etyo yasigazza obubonero 11, olwo Nakaseke International eyabadde emalidde mu kyokusatu ku 13, n'eyitawo nga nnamba bbiri.

Empaka z'omwaka guno ziyindira Jinja mu Busoga, nga zaategekeddwa Jinja College. Kkampuni ya Coca Cola y'ezissaamu ensimbi, era zikomekkerezebwa ku Lwamukaaga nga May 18.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'olulyo Olulangira bafulu...

EKIWANDIIKO KU MBEERA YA KABAKA OKUVA MU BOOLULYO OLULANGIRA

Endabirira y'akamwa n'amannyo.

▶️ Olabirira otya akamwa n'...

▶️ SSAAYANSI W'OBULAMU; Olabirira otya akamwa n'amannyo.  

Yiga okukola emisubbaawa awaka.

▶️ Yiga okukolera emisubbaa...

▶️ Yiga okukolera emisubbaawa awaka ofune ensimbi.

Dr. Specioza Wandira ng'annyonnyola.

▶️ Dr. Specioza Wandira aku...

▶️ Dr. Specioza Wandira akubirizza abantu okugenda babageme Covid 19.

Natalie E. Brown

Omubaka wa Amerika mu Ugand...

OMUBAKA wa  Amerika mu Uganda Natalie E. Brown ayagalizza  Abasiraamu ekisiibo  ekirungi n'agamba nti kino kibeera...