TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Cranes ya Desabre n'eya Mubiru zenkanye evvumbe

Cranes ya Desabre n'eya Mubiru zenkanye evvumbe

Added 17th May 2019

Cranes enkulu eri mu kwetegekera mpaka za Afrika eziritandika nga June 21.

 Allan OKello (ku kkono) owa Cranes ya AFCON ng'alwanira omupiira ne Mustafa Kizza owa Cranes ya COSAFA. Baalemaganye (1-1).

Allan OKello (ku kkono) owa Cranes ya AFCON ng'alwanira omupiira ne Mustafa Kizza owa Cranes ya COSAFA. Baalemaganye (1-1).

Cranes AFCON 1-1 Cranes COSAFA

ABAWAGIZI b'omupiira beefuulidde ttiimu ya Cranes enkulu (egenda mu zaAfrika ng'etendekebwa Desabre) egenda mu mpaka za Africa Cup ne bawagira ento egenda mu mpaka za COSAFA e South Afrika etendekebwa Abdallah Mubiru.

Ttiimu zombi zaabadde mu gwa mukwano e Namboole abawagizi gye bakyukidde okuwagira eya COSAFA naddala olw'okubeeramu abazannyi abato.

Abalala bawaga lwa mutendesi Abdallah Mubiru bakira gwe bakoowoola okumulaga obuwagizi bw'atuuseeko okulondebwa okutendeka ttiimu ya Cranes.

Allan Kayiwa ye yasoose okuteebera Cranes ya COSAFA mu ddakiika y'e 15 ate mu y'e 70 Patrick Kaddu n'ateebera eya AFCON.

Eya COSAFA egenze Bushenyi olwa leero okusamba ogwa Cranes Regional Tour nga yeetegekera okusitula mu ggwanga okwolekera South Africa mu mpaka ezo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...