TOP

Kyetume ne Plascon zikolerera 'Super'

Added 18th May 2019

Kyetume ne Plascon zirwana kwesogga 'super'.

 Jackson Mayanja, atendeka Kyetume

Jackson Mayanja, atendeka Kyetume

Lwamukaaga mu Big League e Lugogo
Play offs
Kyetume - Plascon, 8:00 (ez'emisana)
Fayinolo
Proline - Wakiso, 10:00 (ez'akawungeezi)

Leero (Lwamukaaga), Kyetume FC ne Plascon lwe zittunka okufunako ttiimu eyookusatu eneegatta ku Proline ne Wakiso Giants okuzannyira mu liigi ya ‘Super' eya Uganda sizoni ejja.

Okutuuka wano, Kyetume yawangudde Doves ggoolo 3-2 mu peneti, oluvannyuma lw'eddakiika 90 okuggwa nga  bali 2-2. Mu gwasooseewo, Kansai Plascon yawanduddemu UPDF ku ggoolo 5-4 eza peneti. Baasoose kulemagana 1-1.

Proline ne Wakiso wadde zo zaayitawo dda okwesogga 'super', nazo zaakuttunka ku fayinolo, okulabako bbingwa wa Big League era gwe banaakwasa ekikopo.

 

Mayanja yeemulugunyizza

Omutendesi wa Kyetume, Jackson Mayanja yeemulugunyirizza e Lugogo ddiifiri bw'amugobye ku kisaawe olw'okukozesa olulimi oluvvoola. Ddiifiri Mashood Ssali. eyalambudde omupiira gwa Kyetume ne Doves e Lugogo, ye yafuumudde Mayanja ku kisaawe, ng'ayitira mu ddiifiri owookuna Alex Muhabi.

Wabula Mayanja alumiriza nti talina gwe yavvodde wabula yabadde awa muzannyi we biragiro. Ssali yawadde Doves free kick, Mayanja n'ayita Deo Isejja okumuwa ebiragiro. "Buli omu akimanyi nti nze kuva dda kizibu okuyombera ku kisaawe wadde okuvuma ddiifiri. Mbadde mpa musambi wange magezi ku bwe bayinza okuzibira ‘free kick'," Mayanja bwe yannyonnyodde.


Ng'omupiira guwedde, Muhabi yategeezezza ng'ensonga bw'agenda okuzikwasa FUFA esalewo ebisingawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...