TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Kyetume ewawaabiddwa lwa kuzannyiza bacuba

Kyetume ewawaabiddwa lwa kuzannyiza bacuba

By

Added 20th May 2019

Ttiimu ya Kyetume FC, ayakeegatta ku liigi ya 'Super' ewawaabiddwa lwa kuzannyisa bacuba

 Henry Mugoya (ku kkono) owa Kansai Plascon ng'alwanira omupiira ne Robert Ssentongo owa Kyetume, ku Lwomukaaga e Lugogo

Henry Mugoya (ku kkono) owa Kansai Plascon ng'alwanira omupiira ne Robert Ssentongo owa Kyetume, ku Lwomukaaga e Lugogo

 

TTIIMU ya Kansai Plascon eya Big League ewaabidde Kyetume FC mu FUFA, lwa kusambisa bacuba.

Kyetume yawutudde Kansai Plascon ggoolo 4-1 ku fayinolo ya ‘Play offs' ku Lwomukaaga e Lugogo, n'efuuka ttiimu eyookusatu okwesogga ‘Super' sizoni ejja. Yeegasse ku Wakiso Giants ne Proline ezaayitamu obutereevu.

Abakulira Kansai Plascon baawandiikidde FUFA nga beemulugunya ku bazannyi babiri; Emmanuel Kalyowa (ggoolokipa) gwe balumiriza okuba omuzannyi wa Sofa Paka eya Kenya, n'omuteebi Vincent Owundo gwe bagamba nti azannyira Busia.

Peter Ssengonzi, amyuka omutendesi wa Kansai Plascon, agamba nti abazannyi bano bazze babalondoola okuva ekitundu kya Big League ekyokubiri lwe kyatandika, nga bazannyira Kyetume emipiira egimu nga bwe babaddayo mu ttiimu zaabwe.

 eter sengonzi Peter Ssengonzi

 

 "Obujulizi bwonna tubulina era twabuwaddeyo mu FUFA, " Ssengonzi bwe  yannyonnyodde.

Wabula Aisha Nalule, akulira okutegeka empaka mu FUFA, yagambye nti ensonga ya Kansai Plascon tennatuuka mu ofiisi ye.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...