TOP

Ekibiina ky'ebikonde kinaarwanyisa siriimu

Added 20th May 2019

Ekibiina ekiddukanya ebikonde mu ggwanga, kyegasse n'ebibina by'obulamu okulwanyisa obulwadde bwa siriimu mu bazannyi

  Abamu ku bakulira ebitongole ebyegasse ku UBFederation okulwanyisa akawuka ka siriimu. Ku kkono ye Dr. Karusa Kiragu owa UNAIDS, Muhangi ne Dr. Andrew Kambugu akulira ekitongole kya Infectious Desease Institute e Makerere .

Abamu ku bakulira ebitongole ebyegasse ku UBFederation okulwanyisa akawuka ka siriimu. Ku kkono ye Dr. Karusa Kiragu owa UNAIDS, Muhangi ne Dr. Andrew Kambugu akulira ekitongole kya Infectious Desease Institute e Makerere .

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw'ebikonde, ekya Uganda Boxing Federation (UBF), kitongozza kampeyini y'okulwanyisa akawuka ka siriimu nga kiyamba abazannyi okwekebeza.

Baatandise mwaka oguwedde okukebeza abazannyi bonna abeetaba mu buli mpaka, kuno kwe bagasse abatendesi, baddiifiri n'abakulembeze mu kibiina kya UBF.

Ku Mmande, pulezidenti wa UBF, Moses Muhangi abadde n'abaddukanya ebitongole by'ebyobulamu eby'enjawulo okuli AIC, UNAIDS ne ICI n'alangirira kampeyini eyookubiri etandika ku Lwokutaano, n'okukebera abazannyi  n'abantu abalala ku kiraabu ya Sparks Bombers e Luzira.

 "Twegasse n'abazirakisa ab'ebyobulamu okulwanyisa mukenenya. Tugituumye ‘Box HIV out of Uganda'. Aba UNAIDS baagala obulwadde bwa siriimu okufuuka olugero mu nsi yonna omwaka gwa 2030 we gunaatuukira", Muhangi bwe yategeezezza.

Dr. Karusa Kiragu, akulira UNAIDS mu Uganda, yagambye nti ebibiina 11 mu nsi yonna bye byefunyiridde okulwanyisa  obulwadde buno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...