
Abakyala nga basimbula mu misinde
Bya BRUNO MUGOODA
Ssande mu gy'amakolero
O and M Energy -- Crystal Hotel Coca-cola
Amazima School -- Source of the Nile Hotel
Pit Stop -- Nafirri
Son Fish Farm -- Hotel Paradise
Source of the Nile Hotel -- BIDCO
Grain Bulk -One petroleum -- O and M Energy
Nile Breweries -- Amazima School
BIDCO -- O and M Energy
Amazima School -- Crystal Holding Coca-cola
Amakolero 5 agakulembedde
1. O and M Energy (13)
2. Blink Logistics (13)
3. Eskom Mega Watts (9)
4. Amazima School (9)
5. Crystal Holdings Cocacola (8)
WOOTERI ya Source of the Nile eyingira mu mpaka z'amakolero ku Ssande, ng'enoonya buwanguzi okuva ku Amazima School ne BIDCO, esobole okudda mu bifo ebivuganya ku kikopo.
Bagenda kuttunka mu mipiira gy'amokero, egitegekebwa n'ekigendererwa ky'okugatta n'okumanyagana mu bakozi ba kkampuni ez'enjawulo okuva e Jinja. Abakozi bavuganya mu mizannyo egy'enjawulo okuli emisinde, okubaka n'emirala.
Omutendesi wa Source of the Nile, Juma Bakuba, yategeezezza nti batendekeddwa ekimala era akakasa nti abazannyi be bwe banekkiririzaamu, obuwanguzi bajja kubufuna.
Source of the Nile eri mu kya 11 n'obubonero 4, n'eddirirwa BIDCO ku 3. O and M Energy ne Blink Logistics ze zikulembedde nga zisibaganye ku bubonero 13.