TOP

Chelsea eswamye Lampard

Added 25th May 2019

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

 lampard

lampard

JUVENTUS yeetegese okudduka mu Chelsea ng'emalirizza okuzannya fayinolo ya Europa, eyogere n'omutendesi Maurizio Sarri. Omutendesi ono tamatizza bakama be mu Chelsea era kigambibwa nti nabo aba Chelsea baagala kumweggyako ng'empaka za Europa ziwedde.


Juventus, eterina mutendesi oluvannyuma lwa Max Allegri abadde agitendeka okugenda, esuuriza enkessi okulaba ng'etwala Sarri. Kyokka agayita mu nkuubo nago galaga nga Chelsea bw'etandise omuyiggo gw'omutendesi omulala.

Kigambibwa nti batunuulidde Frank Lampard, eyabazannyirako. Mu kiseera kino, Lampard atendeka Derby County, ezannyira mu Championship ey'e Bungereza kyokka nga nayo ku Mmande egenda kuzannya Aston Villa mu kasengejja akasembayo okulaba oba esobola okwesogga Premier.


Lampard agamba nti engeri gy'akyalina endagaano ne Derby, eby'okugivaamu okugenda mu ttiimu endala waakubyogerako nga bamaze omupiira gwa Mmande.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...