TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Abazannyi ba She Cranes bali mu kutendekebwa

Abazannyi ba She Cranes bali mu kutendekebwa

Added 27th May 2019

Abazannyi ba She Cranes, ttiimu y'eggwanga ey'okubaka, bali mu kutendekebwa okwa kaasammeeme nga beetegekera World Cup

 Lt. Col. Bricks Diamond ng'abangula abazannyi  ba She Cranes

Lt. Col. Bricks Diamond ng'abangula abazannyi ba She Cranes

 

ABAZANNYI ba She Cranes, ttiimu y'eggwanga ey'okubaka, wiikendi baagimazeeko nga bawejjawejja, oluvannyuma lw'okuteekebwa ku kutendekebwa okw'ekijaasi nga beetegekera World Cup.

Baabadde mu jjiimu ya ‘Fitness 4 Life' e Lugogo, ng'eno omutendesi wa fiitineensi era omujaasi wa Amerika eyawummula, Lt. Col. Bricks Diamond, gye yababangulidde mu kutendekebwa okwa kaasammeeme.

Diamond  yategeezezza nti okutendeka kuno, kwe yayise ‘Military Boot Camp', y'engeri yokka mwe bagenda okufunira fiitineensi, sipiidi, sitamina n'amaanyi okusobola okuvuganya n'okuwangula ttiimu z'Abazungu.

Abakulira ttiimu ya She Cranes okuli pulezidenti Susan Anek, maneja Jocelin Ucanda, abatendesi omukaaga,n'abalala bonna baabaddewo.

"Jiimu etukamudde naye tufunyemu nnyo. Abazungu batusinza maanyi era we tunaagendera nga tuli ku ffoomu, Rachel Nanyonga, omu ku bazannyi  bwe yategeezezza.

Abazannyi 18 be beetabye mu kutendekebwa kuno, nga 10 be bajja okusunsulwa beegattibweko kapiteeni Peace Proscovia ne Mary Nuba, abazannya pulo wabweru w'eggwanga.

Empaka zitandika nga July 12, mu kibuga Liverpool mu Bungereza. Uganda eri mu kibinja D n'abategesi aba Bungereza, Scotland ne Samoa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...