TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Engeri Valencia gye yakomezza ejjoogo lya Barcelona

Engeri Valencia gye yakomezza ejjoogo lya Barcelona

Added 27th May 2019

EJJOOGO Barcelona ly'ebadde eyolesa mu mpaka za Copa del Rey, Valencia yalimazeewo bwe yagikubye ggoolo 2-1 ku fayinolo eyazannyiddwa ku Lwomukaaga.

 Abazannyi ba Valencia nga basanyukira ekikopo.

Abazannyi ba Valencia nga basanyukira ekikopo.

EJJOOGO Barcelona ly'ebadde eyolesa mu mpaka za Copa del Rey, Valencia yalimazeewo bwe yagikubye ggoolo 2-1 ku fayinolo eyazannyiddwa ku Lwomukaaga.

Barcelona yazze mu nsiike eno ng'eyagala kuwangula ekikopo kino mulundi gwakutaano gwa muddiring'anwa kyokka Valencia n'ebalemesa bwe yabakubye ggoolo bbiri mu ddakiika 12. Mu ya 21, Kevin Gameiro yateebye esoose okwazze eya Rodrigo mu ddakiika ya 33. Lionel Messi ye yateebye eya Barcelona.

Omutendesi wa Valencia, Marcelini Garcia yatenderezza omutindo gw'abazannyi be n'agamba nti gwamulaze nti basobolera ddala okuvuganya ku bikopo sizoni ejja. Kino kyabadde kikopo kya Valencia kisooka mu myaka 11 okuva lwe yasemba okukiwangula mu 2009 bwe yakuba Getafe (3-1) mu 2008.

Wabula omutendesi wa Barcelona, Ernesto Valverde ali wazibu era essaawa yonna yandigobwa olwa ttiimu okuvumbeera.

Oluvannyuma lw'okukubwa Liverpool (4-0) n'ebaggya mu Champions League, essuubi ly'okutwala ebikopo ebibiri sizoni eno, Valencia yalimazeewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...