TOP

Bebalangidde obugwiira babakubidde okwabwe

Added 27th May 2019

Bebalangidde obugwiira babakubidde okwabwe

Bondeko FC 1-0 Black Street

ABAWAGIZI ba ttiimu ya Black Street baawoze oluvannyuma lwa bebaalangidde okuba abagwiira okubakuba ka goolo akaabalumye.

Ttiimu ya Bondeko nga eno y'abannansi ba Congo abali mu nkambi y'ababundabunda eyitibwa Bondeko e Masajja yabadde ekyazizza ttiimu ya Black Street ku Sunday ku kisaawa kya Masajja mu mpaka za Ssemuko Cup.

Nga omupiira tegunnatandika abawagizi ba Black Street baawezenga  bwebatasobola kukubwa bagwiira era bano tebaakomye okwo bawanyisigannyizza n'ebigambo ebisongovu eri abazannyi ba Congo nga omupiira gugenda mu maaso omwabadde okubalangira  okulya embwa n'ebirala.

Wabula bano kyabaweddeko aba Congo bwebaabalaze taaci okukkakkana nga babateebye goolo eyabalamye okuyunga bwegutyo neguggwa 1-0.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...