TOP

Nsambya Fc yesozze liigi ya Region

Added 27th May 2019

Nsambya Fc yesozze liigi ya Region

Nsambya FC 2-1 Nawanku FC

KYADAAKI ttiimu ya Nsambya FC emaze n'eva mu liigi y'ekibinja ekisooka oluvannyuma lw'okumala ebbanga nga evuya.

Nsambya FC abasinga gyebaakazaako erya "Namukadde", y'emu ku ttiimu ezasookera ddala okuvuganya mu liigi ya babibinyweera nga yatandikibwawo banna ddiini b'enzikiriza enkatoliki mu 1911 era ye ttiimu eyasooka okuwangula Kakungulu Cup kati ayitibwa Uganda Cup .Mu 1999 yasalibwako n'etandika okukkirira mpolampola paka mu Liigi ya Region okukkakkana nga esibidde mu liigi y'ekibinja ekisooka gyebadde emaze sizoni bbiri nga gyevuyiza.

Olunaku lw'eggulo yazzeemu ne y'esogga liigi ya Region bweyawangudde ttiimu ya Nawanku goolo 2-1 mu mupiira ogwakomekkereza liigi y'ekibinja ekisooka ku kisaawe kya Officers Mess e Makindye.

Boban Fredrick Tusuubira nga ye mutendesi era eyazannyirako ttiimu eno yategeezezza nti obumu obubadde mu ttiimu kwossa n'obuvujjirizi okuva mu kigo kye Nsambya bwebubayambye okutuuka kubuwanguzi buno era n'asuubiza okuddamu okusitula ttiimu okugizza mu kifo weyali.

Eno yaleeta abazannyi omuli Denis Onyango,Isaaca Okolima n'abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...