TOP
  • Home
  • Rally
  • Abavuzi 40 beesunze ez'akafubutuko

Abavuzi 40 beesunze ez'akafubutuko

By

Added 29th May 2019

Abavuzi ba mmotoka z'empaka baweze okweriisa enfuufu mu mpaka z'akafubutuko

Dick Charles Ssemengo (ku kkono),Joseph Bbosa, Hamid Gombe ne Mike Mwangi

Dick Charles Ssemengo (ku kkono),Joseph Bbosa, Hamid Gombe ne Mike Mwangi

ABAVUZI ba mmotoka z'empaka 40, baweze okweriisa enfuufu  bwe banaaba battunka mu z'akafubutuko ezisookedde ddala ku kalenda y'omwaka guno.

Empaka zino zaatongozeddwa ku Lwokubiri, ku Forest Resort Park e Buloba, w'ezigenda okubeera, ng'abavuzi 12 n'abasomi baabwe aba maapu, be bamu ku baabaddewo.

Empaka zaatuumiddwa ‘2019 FMU Sprint Rally', era zaakubeerawo ku Lwomukaaga nga June 9.

Hamid Gombe, omumyuka wa pulezidenti wa FMU, ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno, yagambye nti ng'oggyeeko obubonero, omuwanguzi waakuweebwa sseddume w'ente ate owookubiri n'owookusatu bafune kimeeme w'embuzi.

Joseph Bbosa, nnannyini Buloba Forest Park, yakalaatidde abawagizi obutasukka lukomera lwe bataddewo, okusobola okwewala obubenje.

"Omuzannyo guno mulungi era ffenna tugunyumirwa naye tetujja kugwenyumiririzaamu ng'abamu ku bannaffe bafunye obubenje." Bbosa bwe yategeezezza.

Dick Charles Ssemengo, eyakuliddemu amakubo, yategeezezza nti mmotoka zaakutolontoka kiromita 1.77.

Arthur Blick Junior ye kyampiyoni w'omwaka oguwedde.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...