TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Eza Gyaviira Ssemwanga Cup zikomekkerezeddwa

Eza Gyaviira Ssemwanga Cup zikomekkerezeddwa

Added 5th June 2019

Ttiimu ya Kisaayi ne Ddwaaniro ziwangudde empaka za Gyaviira Cup ezaakomekekrezeddwa ku Iddi

 Gyaviira Ssemwanga (ku kkono) ne Robert Benon Mugabi, ssentebe wa disitulikiti y'e Rakai, nga bakwasa kapiteeni wa Kisaayi FC ekikopo

Gyaviira Ssemwanga (ku kkono) ne Robert Benon Mugabi, ssentebe wa disitulikiti y'e Rakai, nga bakwasa kapiteeni wa Kisaayi FC ekikopo

MPAKA za Iddi eza  Gyaviira Ssemwanga Cup, zaakomekkerezeddwa mu ssaza ly'e Buyamba e Kooki, mu disitulikiti ye Rakai.

Empaka zino, ezaatekebwaawo omusuubuzi Gyaviira Ssemwanga, zaabadde ku kisaawe kye Kisaayi mu ggombolola y'e Ddwaaniro e Rakai ku Lwokubiri.

Zibadde zitambulira ku kugaba bubonero nga Kisaayi FC ye yasinze endala okukung'aanya obungi, n'esitukira  mu kikopo ky'abalenzi ne kkavu wa 3,000,000. Mu bawala ttiimu ya Ddwaaniro ye yawangudde n'eweebwa ekikopo ne 2,000,000/-

tiimu ya  dwaaniro ye yawangudde ekyabakaziTtiimu ya Ddwaaniro ye yawangudde eky'abakazi

 

Ssemwanga yagambye nti agenderera kutumbula bitone n'okugatta abantu  b'e Buyamba, n'asuubiza okugenda mu maaso n'okukulaakulanya emizannyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...