TOP

Ente enattunka n'embwa mu gy'ebika

Added 6th June 2019

ENTE ewera kutomera Mbwa mu mpaka z’ebika bya Buganda mu kisaawe e Wankulukuku enkya ku Lwokutaano ku ssaawa 10:00 ez’akawungeezi.

Bya MOSES KIGONGO 

Mbwa vs Nte Lwakutaano e Wankuluku

Ssaawa 10:00 ez'akawungeezi

ENTE ewera kutomera Mbwa mu mpaka z'ebika bya Buganda mu kisaawe e Wankulukuku enkya ku  Lwokutaano ku ssaawa 10:00 ez'akawungeezi.

A'bente bakomyeewo mu nsiike nga banoonya buwanguzi bwokka okukakasa abawagizi baayo nti Engabo y'omwaka guno egyagala.

Ente yasoose kuwandula Balangira mu mpaka z'omulundi guno, bwe yabakubye ggoolo 1-0 eyateebedwa muyizzitasubwa waabwe Pius Wangi (ali mu SC Villa).

 "Twagala kuwangula Ngabo y'omwaka guno era tuli bamalirivu okuwandula buli ttiimu eneetusala mu maaso okutuusa nga tutuukirizza ekigendererwa kyaffe sizoni eno",bwatyo maneja wa ttiimu eno Getrude Nakyanzi amannyidwa ennyo nga "Musawo  Geetu" bwe yategeezeza.

Ttiimu eno etendekebwa mu kisaawe ky'e Nsambya.

Ente y'emu ku ttiimu ezirina likodi y'okuwangula engabo emirundi ebbiri egy'omudiringanwa ekigifudde emu ku ttiimu ez'amaanyi.

Yagiwangula mu 2016 e Bugerere bwe yakuba Abalangira mu peneti 5-4 ne 2017 e Bulemeezi bwe yamegga Effumbe  ggoolo 1-0 eyateebwa Umar Kasumba ne yegatta ku ttiimu ng'Emmamba, Ngeye  n'Olugave abaakola ekintu kye kimu wakati wa 1964 ne 1965,  1991 ne 1992 ne 1998 ne 1999.

Embwa tewangulangako Ngabo kyokka ewera kuswaza Nte mu maaso g'abawagizi bayo abagigaya.

Mu ngeri y'emu Endiga yattunse n'EKinyomo mu gumu ku mipiira gy'oluzannya olw'okubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...