TOP

Andy Ruiz: Eyakubye Joshua yali 'apoota' ku bizimbe

Added 7th June 2019

OKUGGYAKO abooluganda, abako n’abeemikwano, teri yabadde asiba kinusu kye ku Andy Ruiz kumegga Anthony Joshua!

 Ruiz yakubye Joshua ekikonde ne kimusuula ku ttaka.

Ruiz yakubye Joshua ekikonde ne kimusuula ku ttaka.

OKUGGYAKO abooluganda, abako n'abeemikwano, teri yabadde asiba kinusu kye ku Andy Ruiz kumegga Anthony Joshua!
 
Bano baagasimbaganye mu kikonde wakati mu nnamungi w'abawagizi abeeyiye mu kisaawe kya Madison Square Gardens mu kibuga New York mu Amerika.
 uiz ngakasukidde oshua ekikonde ku sande
 Ruiz ng'akasukidde Joshua ekikonde ku Ssande.
 
Wakati mu mizira, abamu ku baaliko bakafulu mu kuggunda eηηuumi okwabadde Mike Tyson, Floyd Mayweather, Oscar De La Hoya n'abalala, kkamera zaabalaze nga beewuunya ekikula ky'omusajja ayingidde emiguwa okuttunka ne Anthony Joshua nga tebasuubira nti asobola okukasuka eηηuumi erimu akazitowa, akasobola n'okulumya omuntu wa bulijjo. 
 
Kyokka ebyavudde mu lulwana luno, bakkirizza nti ‘obunene si buteesobola'.
 
 uiz ngajaganya okukuba oshua Ruiz ng'ajaganya okukuba Joshua
 
 
 
 
 

 

Ruiz yakubye Joshua ekikonde ‘tonziriranga' ekyamusudde mu laawundi eyoomusanvu ku 12 ze baabadde balina okubbinkana era Ruiz yayingidde mu byafaayo ng'asoose okuwangula Joshua bukya atandika kuzannya bikonde.
 
Nga Joshua tannawanika, Ruiz yasoose kumusuula wansi emirundi 3 mu laawundi 6 ezaasoose.
 
Oluvannyuma Ruiz yakasuse eηηuumi eyabaddemu n'akawuuma, n'esuula Joshua ku ttaka, n'atandika okubuuza omutendesi we ekimutuseeko nti era lwaki ali ku ttaka.
 
Wano ddiifi ri Michael Griffi n yakomekkereza omuzannyi,ataase Joshua eyabadde awunze.
 
Ruiz yasitukidde mu misipi gy'ensi yonna ena okuli ogwa International Boxing Federation, International Boxing Organisation, World Boxing Association n'ogwa World Boxing Organisation, Joshua gy'abadde nagyo.
 
BAAKUDDING'ANA MU MYEZI 6
 
Enkambi zombi zaakkiriziganyizza wabeewo olulwana lw'okudding'ana mu November oba December.
 
Kyokka ng'enteeseganya zigenda mu maaso, Ruiz yabatunuulidde
akaga n'ategeeza nti wonna we banaamuddiza Joshua, ajja kumukuba amusiimuule mu bitabo by'abazannyi b'ebikonde.
 
YE MU MEXICO ASOOSE OKUKUBA KYAMPIYONI WA ‘HEAVY'
Obuwanguzi bwe yafunye, bwamufudde omuggunzi w'eηηuumi enzaalwa ya Mexico asoose okufuuka kyampiyoni w'ensi yonna mu buzito bwa ‘Heavy'.
 
Wadde Mexico y'emu ku nsi ezireeta abaggunzi b'eηηuumi abalungi kyokka basinze
kwatiikirira mu kuwangula misipi gya buzito obwa wansi okuli obwa ‘Welter', Middle, ne Light.
 
YASINDISE OBUBAKA ERI TRUMP
 
Ruiz okuwangula Joshua kyayambye Mexico okwetikka amawulire mu nsi yonna era Palamenti yaakumugatta ku bazira b'eggwanga.
 
Ng'olulwana lwakaggwa, Ruiz yategeezezza nti yakubye Joshua atere asindike obubaka eri Dornald Trump, Pulezidenti wa Amerika, akomye okuyisaamu amaaso bannansi banne ate aggyewo n'ekirowoozo eky'okuzimba ekisenge ekyawula Amerika
ne Mexico.
 
 
Ruiz agamba nti kino Trump ky'ayagala okukola, kisosola mu bantu  okwetooloola ensi yonna.
 
Kino Palamenti ya Mexico yakitapuse kuba na mutima gwa ggwanga era yaakuwa Ruiz omudaali gwa ‘Mexica Presidential Freedom Award', oguweebwa abazira b'eggwanga.
 
 
 
 
 
 
AMERIKA YAGIFUULA KATTIRO
Mu nnwaana 33 z'alina, yaakakubwamu lumu lwokka. Mu Amerika, Ruiz yaakazannyirayo ennwaana 30 era zonna aziwangudde.
 
Ennwaana 32 ze yaakawangula, 22 aziwangudde akubye ekikonde ‘tonziriranga'.
 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...