TOP

Arsenal eddidde Carrasco

Added 8th June 2019

Arsenal yali eyagala kugula Carrasco omwaka oguwedde wabula ne bamubatwalako.

 Carrasco

Carrasco

ARSENAL eneetera okumaliriza enteeseganya ne Yannick Carrasco azannyira mu Dalian Yifang eya China.


Omwaka oguwedde, Arsenal yali egula omuzannyi ono okuva mu Atletico Madrid wabula Yifang n'egisinza amaanyi n'emutwala. Mu kifo ky'ono, Arsenal yatwalamu Denis Suarez okuva mu Barcelona ku bbanja kyokka kati yamuzzizzaayo.


Omutendesi Unai Emery agamba nti ayagala kuttukiza byakutwala Carrasco kyokka n'omuzannyi yennyini yategeezezza nti ayagaka kuddayo azannyire mu ttiimu z'omu Bulaaya.


"Ekisinga obukulu, ndi wala ne famire yange ate nga nneetaaga okubalambulako," Carrasco bwe yategeezezza. Endagaano ya Carrasco ne Dalian Yifang eneetera okuggwaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...