TOP

Chelsea eri mu kattu

Added 11th June 2019

Essaawa yonna Sarri abadde agitendeka yandigenda mu Juventus era bayigga ayinza kumusikira

Sarri, atendeka Chelsea

Sarri, atendeka Chelsea

OMUGAGGA nnannyini Chelsea, Roman Abramovich, ategeezezza nti kooci yenna, anaaba mu mitambo gya ttiimu eno sizoni ejja, amwetaaza kugiyamba okumalira mu ttiimu ennya ezisooka mu Premier.


Mu kiseera kino, Chelsea enoonya mutendesi anaasikira Maurizio Sarri agitendeka kyokka ng'alabise okwegatta ku Juventus. Abawagizi baayo, baagala Frank Lampard kyokka ono akyali mutendesi wa Derby County, ezannyira mu kibinja kya Championship. Wabula abakungu ba Chelsea abalala, amaaso bagatunuzza ne ku; Max Allegri abadde mu Juventus, Erik ten Hag owa Ajax kyokka era waliwo abagamba nti waakiri bakomyewo Jose Mourinho.


Wabula yenna gwe banaaleeta, omugagga Abramovich amwagaza kukola bulungi naddala okuyamba Chelsea, okumalira mu ttiimu ezizannya mu Champions League.

Sarri, 60, yawangudde ekikopo kya Europa kyokka Chelsea yamaze dda okutunda Eden Hazard wadde nga yo, baagissaako ekkoligo ly'obutagula bazannyi. Wadde nga yeetegese okujulira, omutendesi yenna anaaba aliwo asuubirwa nnyo okwesigama ku bazannyi abaliwo okufunira ttiimu ye obuwanguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...