TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Lady Doves sizoni egisaze era eviriddemu awo

Lady Doves sizoni egisaze era eviriddemu awo

Added 11th June 2019

Ttiimu ya Lady Doves, ey'omupiira gw'abakazi, sizoni gye yali yeesuunze okufuukiramu 'nnaalongo' egisalidde ddala

 Abazannyi ba She Mak nga bajaganya n'ekikopo

Abazannyi ba She Mak nga bajaganya n'ekikopo

Lady Doves 2-0 She Mak FC

Bagamba nti kyotannalya tokyesunga. Sizoni eno we yatandikira ng'abazannyi n'abawagizi ba ttiimu ya Lady Doves, ttiimu y'abakazi ey'omupiira, beesunga kuwangula ebikopo bibiri (2) bafuuke ba  ‘nnaalongo'.

Bano baasooka kuggyibwa mu kikopo kya liigi y'omupiira gw'abakazi,  bwe baakubwa UCU Lady Cardinals ggoolo 2-0, ku fayinolo y'akakung'unta aka FUFA Women Elite League, ne basigala nga basuubira nti wadde obwa ‘nnaalongo' bubalemye, banabuukayo n'ekikopo sizoni eno.

 hadia ankya omuzibizi wa ganda artytrs ne rested ranes ye yasinze abateebi Shadia Nankya, omuzibizi wa Uganda Martytrs ne Crested Cranes, ye yasinze abateebi

 

Ku Lwomukaaga, ttiimu ya She Mak  essuubi  lino yalimazeewo, bwe yabakubidde ku fayinolo ya FUFA Women Cup, ggoolo 2-0,  n'ebatwalako ekikopo. Ggoolo ya Jemima Twesigye, eyabadde eya peneti mu kitundu ekisooka, n'eyakyeteeba eya Gladyc Nakitto, ze zannyogozza abawagizi ba Lady Doves ey' e Masindi.

 mina ababi owa he ak omuzannyi eyasinze mu mpaka za  omens up Amina Nababi owa She Mak omuzannyi eyasinze mu mpaka za FUFA Women's Cup

 

Kapiteeni wa Uganda Martyrs era omuzibizi wa Crested Cranes, Shadia Nankya ye yanywedde mu banne ekendo mu kulengera akatimba, ne ggoolo musanvu,  Amina Nababi, omuwuwuttanyi wa She Mak, n'alondebwa  ku ky'omuzannyi asinze banne, ate eky'omukwasi wa ggoolo ne kiweebwa Vanessa Karungi owa She Corporates.

Bakyampiyoni bafunye 3,000,000/- ate Lady Doves n'efuna  2,000,000/-. Ebirabo ebyaweereddwa abawanguzi ssekinnoomu, byagendeddeko emitwalo 10.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono