TOP

She Mak ekamirwa bina

Added 12th June 2019

She Mak ekamirwa bina

Doves 0-2 She Mak FC Bagamba nti ky'otonnalya tokyesunga. Sizoni eno we yatandikira ng'abazannyi n'abawagizi ba ttiimu ya Lady Doves, ttiimu y'abakazi ey'omupiira, beesunga kuwangula bikopo bibiri (2) bafuuke ba ‘nnaalongoby'.

Bano baasooka kuggyibwa mu kikopo kya liigi y'omupiira gw'abakazi, bwe baakubwa UCU Lady Cardinals ggoolo 2-0 ku fayinolo y'akakungunta aka FUFA Women Elite, ne basigala nga basuubira nti wadde obwa ‘nnaalongo' bubalemye, banaabukayo n'ekikopo sizoni eno.

Ku Lwomukaaga, ttiimu ya She Mak essuubi lino yalimazeewo bwe yabakubidde ku fayinolo ya FUFA Women Cup, ggoolo 2-0, ne batwalako ekikopo. Ggoolo ya Jemima Twesigye, eyabadde eya peneti mu kitundu ekisooka n'eyakyeteeba eya Gladyc Nakitto, ze zannyogozza abawagizi ba Lady Doves ey' e Masindi.

Kapiteeni wa Uganda Martyrs era omuzibizi wa Crested Cranes, Shadia Nankya ye yanywedde mu banne akendo mu kulengera akatimba, ne ggoolo musanvu, Amina Nababi, omuwuwuttanyi wa She Mak, n'alondebwa ky'omuzannyi asinze banne ate eky'omukwasi wa ggoolo ne kiweebwa Vanessa Karungi owa She Corporates.

Bakyampiyoni bafunye obukadde 3,000,000/- ate Lady Doves n'efuna 2,000,000/-. Ebirabo ebyaweereddwa abawanguzi sekinnoomu, kyagendeddeko emitwalo 10

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...