TOP

She Cranes eggumidde

Added 12th June 2019

She Cranes eggumidde

OMUTEEBI wa ttiimu y'eggwanga ey'okubaka, She Cranes, Mary Nuba, azannyira mu Loughborough Lightning eya Bungereza, yeegasse ku ttimu eno, n'aleeta ebbugumu mu nkambi.

Nuba yatuuse ku wiikendi, ku Mmande ku makya n'agenda e Lugogo, banne gye bamaze omwezi omulamba mu kutendekebwa nga beetegekera World Cup. Empaka zino zaakuzannyibwa wakati wa July 12-21 mu kibuga Liverpool e Bungereza. "Tulina ttiimu ennungi, naye tubulamu emifumbi n'okuggyayo amaanyi g'Ekifrika ku kisaawe.

Abazungu bagatta obwongo, n'okutendekebwa okw'amaanyi, naffe bwe tuba baakukola bulungi, tulina okwongera obukodyo obupya mu nzannya yaffe," Nuba bwe yannyonnyodde. Wiiki ewedde, ssaabawandiisi w'akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga aka NCS, Dr. Bernard Ogwel, yayanjudde abazannyi 15 n'abakungu mukaaga abagenda okukiikirira Uganda.

Ku bazannyi 17 abaabadde mu nkambi, 10 be baateereddwa ku ttiimu. Kuliko; Jesca Achan, Lilian Ajio, Betty Kizza, Ruth Meeme, Joan Nampungu, Muhayimina Namuwaya, Stella Nanfuka, Racheal Nanyonga, Sylivia Nanyonga ne Stella Oyella. Bano kwe kwegasse Nuba Cholhok ne Peace Proscovia, azannyirwa mu Australia.

Martha Soigi, Irene Eyaru ne Shariffie Nalwanja, baateereddwa ku katebe ate Norah Lunkuse, Irene Akello, Hindu Namutebi ne Fausia Nakibuule ne basuulibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...