TOP

Abawanguzi ba USPA balinze kavvu

Added 14th June 2019

OMUSITUZI w’obuzito, Roy Mubiru, alinze kavvu wa 500,000/-, eziweebwa omuwanguzi asinze banne okwolesa ekitone, mu mizannyo egy'enjawulo, buli mwezi.

 Mubiru (ku ddyo) n'emidaali.

Mubiru (ku ddyo) n'emidaali.

Bya SILVANO KIBUUKA
OMUSITUZI w'obuzito, Roy Mubiru, alinze kavvu wa 500,000/-, eziweebwa omuwanguzi asinze banne okwolesa ekitone, mu mizannyo egy'enjawulo, buli mwezi.
 
Abawanguzi balondebwa bannamawulire abasaka ag'emizannyo, abeegattira mu kibiina kya USPA, mu lutuula lwabwe olusasulirwa kkampuni ya Nile Special, buli mwezi.
 
Mubiru yawangudde eky'obuzannyi bwa May, ne yeegatta ku KCCA FC eyawangula
mu April, ng'ensimb zaakubakwasibwa mu July, wamu n'abawanguzi b'omwezi ogwo n'ogwa June.
 
Ku buwanguzi bwa May, Mubiru yamezze ttiimu y'eggwanga eya Beach Woodball, ku bululu 300 - 280, mu kulonda kwa USPA okwabdde ku wooteeri ya Imperial Royale, ku Mmande.
 
Yawangudde emidaali gya zaabu ebiri mu Ukraine mu mpaka z'ensi yonna, ezeetabiddwamu abazannyi okuva mu mawanga 24, nga yasitudde omugatte gwa kkiro 555.
 
Omudaali ogumu yagufunye bwe yawangudde aboobuzito bwa kkiro ze (125), ate omulala lwa kuwangula abazannyi bonna abeetabye mu mpaka zino.
 
Wadde eya Beach Woodball yawangudde emidaali gya zaabu mukaaga, Mubiru yasoosoowaziddwa olw'okubeera Omufrika yekka eyavuganyizza ate n'awangula, mu
mpaka eziri ku mutindo gw'ensi yonna.
 
Omuddusi Jackob Kiplimo, eyawangudde egya kiromita 10 mu kibuga Manchester mu Bungereza, yakutte kyakusatu, ku bululu 275.
 
Abalala abaasiimiddwa ye ttiimu ya Proline, eyawangudde Uganda Cup, St. Mary's Kitende eyasitukidde mu ky'amasomero ekya COPA Coca Cola, ne ttiimu ya volleyball
ey'abakazi eyakutte ekyokubiri mu z'okusunsulamu eza Africa.
 
Pulezidenti wa USPA, Patrick Kanyomozi, yakubirizza amatabi ga USPA amapya e Masaka, Hoima, Gulu ne Mbale okwongera okulondoola abazannyi mu bitundu ebyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...